『Ddipo Naziggala: Ettamiiro n’Okulivvunuuka mu Kampala』のカバーアート

Ddipo Naziggala: Ettamiiro n’Okulivvunuuka mu Kampala

Ddipo Naziggala: Ettamiiro n’Okulivvunuuka mu Kampala

著者: China Scherz George Mpanga and Sarah Namirembe
無料で聴く

このコンテンツについて

Ddipo Naziggala: Ettamiiro n’okulivvunuuka mu Kampala bwe butambi obukwata ku ttamiiro n'engeri z'olivunuukamu mu Kampala Uganda. Emboozi zino zakunganyizibwa okumala emyaka ena ng’abononyereza banoonya engeri bannayuganda ababeera mu nkingizzi za Kampala gyebakolamu okuva ku mwenge n’ebizibu ebiguvaamu. Newankubadde kigambibwa nti ebitundu nga 58 ku buli kikumi be baviira ddala ku mwenge, alipoota ya WHO eraga nti abanywa omwenge banywa mungi ddala, nga buli muntu anyway liita z’omwenge 23.7 buli mwaka. Bw’ogeregeranya, alipoota ya WHO ey’omwaka 2014 eraga nti mu America omuntu omu anywa liita z’omwenge 13.3 ate mu Russia omuntu anywa liita z’omwenge 22.3 [World Health Organization 2014] Okumala emyaka egyo ena [2015-2019] twayagala okuzuula ku nnywa y’omwenge era n’engeri abantu gye bagezaako okuwonamu ennywa y’omwenge embi. Ekyo twakikolanga nga twogera n’abantu mu ma bbaala ne mu bifo gyebagendanga okusobola okuwona okunywa omwenge. Abantu abamu baagendanga mu malwaliro agajanjaba ab’ebitamiiza era n’okwetaba mu guluupu z’ababikozesa [Alcoholics Anonymous]. Ku lwensonga nti enzijanjaba eriwo mu Uganda mpya ate ya kizungu, abantu abamu bo baanoonya okuwona nga bakozesa eby’ekinnansi. Baagenda mu batunda eddagala egganda. Era baawongeranga empewo ne lubaale mu masabo g’abasamize. Era baasabanga mu makanisa g’abalokole ne mu bakatuliki aba karizimatiki. Emboozi zino zonna zakunganyizibwa kuva mu bo. Emboozi zino zonna ntuufu, ng’abazitugamba bajjukira ebyabatukaako nga babibuulira abanoonyereza. Okusinziira ku mateeka ga Uganda National Council for science and Technology, amannya g’abantu n’ebifo bikyusiddwamu olw’obutabalalaasa. Tulina essubi nti bwetugabana nammwe emboozi zino, musobola okwongera okumanya ku ngeri ez’enjawulo abantu zebayitamu okuwona omwenge n’ebizibu byeguleeta. Era tulina e ssuubi nti emboozi zino ziyinza okuzzamu essuubi mu kugonjoola obuzibu bwebuti mu bulamu. Nga tumaliriza, twagala okwebaza abantu bonna abaatunyumiza emboozi zino zetugabanye nammwe.China Scherz, George Mpanga, and Sarah Namirembe 2022 スピリチュアリティ 心理学 心理学・心の健康 社会科学 衛生・健康的な生活
エピソード
  • Irene
    2022/05/22

    Mu kitundu kino omukyala ayitibwa Irene awona omwenge bweyetaba mu kusamira n’okuwongerera empewo.

    Ddipo Naziggala: Ettamiiro n’okulivvunuuka mu Kampala mboozi ya leediyo nga ya bitundu kumi-nabibiri, ng’eri mu Luganda era ng’ekwata ku ttamiiro n’engeri gy’okulivvunukamu mu bitundu by’eKampala mu Uganda. Emboozi zino zakunganyizibwa  okumala emyaka ena ng’abononyereza  banoonya engeri  bannayuganda ababeera mu nkingizzi za Kampala gyebakolamu okuva ku mwenge n’ebizibu ebiguvaamu.

    続きを読む 一部表示
    7 分
  • Gregory
    2022/05/15

    Mu kitundu kino omusajja ayitibwa Gregory anoonya okuwona omwenge nga agenda mu malwaliro g’ebitamiiza awamu n’okwetaba mu guluupu za ba Alcoholics Anonymous. 

    Ddipo Naziggala: Ettamiiro n’okulivvunuuka mu Kampala mboozi ya leediyo nga ya bitundu kumi-nabibiri, ng’eri mu Luganda era ng’ekwata ku ttamiiro n’engeri gy’okulivvunukamu mu bitundu by’eKampala mu Uganda. Emboozi zino zakunganyizibwa  okumala emyaka ena ng’abononyereza  banoonya engeri  bannayuganda ababeera mu nkingizzi za Kampala gyebakolamu okuva ku mwenge n’ebizibu ebiguvaamu.

    続きを読む 一部表示
    16 分
  • Richard
    2022/05/08

    Mu kitundu kino omusajja ayitibwa Richard awonyezebwa era n’afuna abantu abapya mu kkanisa y’abalokole.

    Ddipo Naziggala: Ettamiiro n’okulivvunuuka mu Kampala mboozi ya leediyo nga ya bitundu kumi-nabibiri, ng’eri mu Luganda era ng’ekwata ku ttamiiro n’engeri gy’okulivvunukamu mu bitundu by’eKampala mu Uganda. Emboozi zino zakunganyizibwa  okumala emyaka ena ng’abononyereza  banoonya engeri  bannayuganda ababeera mu nkingizzi za Kampala gyebakolamu okuva ku mwenge n’ebizibu ebiguvaamu

    続きを読む 一部表示
    6 分
まだレビューはありません